Jeremiah 12:1
Okwemulugunya kwa Yeremiya
1 aBulijjo oba mutuukirivu, Ayi Mukama Katonda,
bwe nkuleetera ensonga yange.
Noolwekyo nnaaleeta ensonga yange gy’oli.
Lwaki abakozi b’ebibi baba mu kwesiima?
Lwaki abalimbalimba bonna baba mu bulamu obw’emirembe?